Amawulire

Magyezi alabudde abakulembeze be’Masaka obutegabira midaala mu katale

Magyezi alabudde abakulembeze be’Masaka obutegabira midaala mu katale

Ivan Ssenabulya

November 3rd, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Minista wa gavumenti ez’ebitundu Raphael Magyezi alabudde abakozi mu Masaka city council ababadde batandise okwegabira emidaala mu katale akapya akazimbibwa, nti bakikomye kubanga akatale kabafuna mpola.

Ono okukola okulabula kuno abadde alambula omulimo gw’okuzimba akatale wa wegutuuse.

Akatale kano kakuwemmenta obuwumbi bw’ensimbi za 18, nga zaavudde mu Africa Development Bank ne gavumenti ya Uganda.

Abasuubuzi e Masaka nga bakulembeddwamu Ssentebe waabwe Nakayiza Base bamubuliidde nga bwewazeewo kigoye wezinge mu kugaba emidaala.

Abasubuzi basabye abakulembeze mu kibuga kino okuggyayo bonna abakokera ku nguudo bade munda mu katale.

Meeya w’ekibuga Masaka Florence Namayanja ategeezezza Minista Magyezi nga bwewatali muntu agenda kukirizibwa wabweeru wa katale.