Amawulire
Eyali kamisona ku kakiiko k’ebyokulonda Afudde
Bya Derrick Wandera
Eyali kamisona ku kakiiko kebyokulonda Tom Buruku afudde.
Ono okufa kwe kukakasiddwa ab’oluganda lwe akawungeezi keggulo.
Hilary Madira Oswa, nga kizibwe womugenzi Buruku, agambye nti tebanakakasa kiki ekyamuvirirddeko okufa.
Wabula ono agambye nti omugenzi abadde alwanagana nebirwadde byomutima nebirwadde byensigo.
Madira agambye nti ku Bbalaza yagenda mu kujanjabibwa okwabulijjo, ewa Dr Ssekasanvu e Kamwokya wabula bweyaddayomu maka g’e Garuga mu Kampala, yatandikaokufuna okulumizibwa mu mubiri.
Yalemererwa okulya ekyeggulo, era mu matumbi budde nassa ogwenkomerero.
Omugenzi yazalibwa mu mwaka gwa 1973, yalese abaan 5.
Yalondebwa kubwa kamisona okutuula, ku kakiiko kbyokulonda mu 2002, nawereza okutukira ddala mu mwaka gwa 2016.
Yawerezaako mu bifo ebyenjawulo ku kitongole kya Uganda Red Cross Society.
Mu ntekateeka yokuziika eyafulumye;
Omulambo gugenda kutwalibwa mu maka ge olwaleero, oluvanyuma gutwalibwe ku kkanisa ya Calvary COU – Kagave ekiro.
Ku Lwokuna gwakutwalibwa ku All saints Church e ate gusule ku Okuvu COU – Kampala.
Ku Lowkutaano, gwakutwalibwa mu Arua, olumbe lukumibwe ku Maracha Kijomoro Poo.
Ku lunnaku Lwomukaaga, gwakutwaliba ku Mvara Congo Zone olumbe lukumibwe mu maka gomugenzi Semei Osoa, azikibwe ku Sunday.