Amawulire

Omukazi asazeeko bbaawe obusajja ngamunenya bwenzi

Omukazi asazeeko bbaawe obusajja ngamunenya bwenzi

Ivan Ssenabulya

November 11th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu disitulikiti ye Rukungiri ebakanye nokunonyereza, kungeri omukazi owemyaka 40 gyeyavudde mu mbeera nasalako bbaawe, ebitundu byekyama.

Benon Tugumisiriza owemyaka 45, kigambibwa nti mukyala we okumukola kino, basoose kufuna luyombo ngamuneya obwenzi nokuwasa omukazi owokubiri.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kye Kigezi nga ye Elly Maate agambye nti bino byabadde ku kyalo Bikurungu era wetwogerera omusajja ali mu ddwaliro gyafunira obujanjabi.

Yye omukazi ategerkeseeko erya Milly Kobusingye kati aliira ku nsiko.