Amawulire
Etteeka ku bisiyaga liyise
Ebbago ly’etteeka erigufuula omusango okulya ebisiyaga liyise
Ebbago lino liddiziddwa mu palamenti olwaleero nerikubaganyizibwaako ebirowoozo era n’oluvanyuma neriyisibwa
Ekiteeso ekiyisa etteeka lino kireeteddwa omubaka Benson Obua nekiwagirwa ababaka abalala abatali bamu
Obua agambye nti ebbago lino lijja kuyamba nnyo okutaasa naddala omujiji omuto oguli mu matigga singa omuze gw’ebisiyaga gukirizibwa
Agasseeko nti ebbago lino liwagirwa bannayuganda abawera era ng’akimanyi nti buli omu ajja kulyagaala
Wabula ng’ebbago terinnayita, ssabaminista Amama Mbabazi agezezzaako okuliremesa ng’agamba nti babadde beetaga obudde okwongera okwebuuza ku bantu kyokka kino Sipiika Rebecca Kadaga akigaanye ng’agamba nti ababaka baweebwa obudde obumala okwebuuza
Etteeka lino lyaleetebwa omubaka we Ndorwa David Bahati mu mwaka gwa 2009 era ng’okuva olwo wabaddewo okusika omuguwa ng’abamu baliwakanya
Ebbago lino lyasinga kuwakanyizibw amawanga ga beerua gagamba nti abantu balina eddembe okulondawo kiki kyebakolera obulamu bwaabwe
Ekibonerezo ekiweebwa eri omuntu asingisibwa omusango gw’okulya ebisiyaga gw akusibwa mayisa.