Amawulire

Adama Barrow awangudde akalulu ke Gambia

Adama Barrow awangudde akalulu ke Gambia

Ivan Ssenabulya

December 6th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Omukulembeze wegwanga lya Gambia Adama Barrow awangudde akalulu, akasokedde ddala akatabaddemu Yahya Jammeh, eyogerwako nga nakyemaliira eyali akulembedde egwanga lino ku mudumu gwe mmundu n’okulidibaga.

Kubadde kusereza ligenda mugga, Barrow bwawangudde a akaklulu kano ku 53% atenga munnamateeka abadde awadawadako Ousainou Darboe yafunye 28%.

Darboe nababala bwebavuganyizza mu kalaulu babadde balangirirdde nti tebajja kukiriza ebinaaba bivudde mu kulonda.

Mu kulonda okuwedde Barrow dyawangula Yahya Jammeh, kankano ali mu buwanganguse, yasooka nakiriza ebyavudde mu kulonda ate oluvanyuma nakalambira okuwakana.

Jammeh eyali akulembeze egwanga lino emyaka 22, bingi ebizze bizuuka kungeri gyeyadibaga egwanga, okutyoboola eddembe lyobuntu ngera yakuliita nobugagga bwegwanga okwali esimbi mu mpeke eziwerako.