Bya Prossy Kisakye, Bannauganda ekitundu kimu kyakuna bali mu katyabaga ak’okukwatibwa endwade ez’ekuusa ku mutima.
Abakugu mu by’obulamu balabudde ku kirwadde ky’omutima kyandyeyongera mu biseera eby’omaaso
Okulabula kuno kukoledwa akulira edwaliro ly’emitima mu ggwanga, Dr.John Omagino wakati nga egwanga lyetegekera ebikujjuko by’okukuza olunaku lwe birwadde bye mitima munsi yonna olugenda okukuzibwa nga 4 omwezi gwe 10.
Dr. Omagino ategeezezza nga ebitundu 80% ebya bannaUganda tebimanyi mitima gyabwe bwe giyimiridde.
Ono agamba omuwendo gwandilinya wetunatulkira omwaka 2030 olw’embeera embi abantu gye balyamu ,okwelalikirira kw’abantu okuva kubbula ly’ensimbi kwossa n’ebirala.
Olunaku lw’ensi yonna olw’ebirwadde eby’ekuusa ku mitima lukuzibwa buli Sunday esemba mu mwezi nga wano ebikujjuko bya kukwatibwa ku lw’okutaano luno ku kisaawe kya Busoga square mu disitulikiti y’e Jinja .