Bya Benjamin Jumbe, Omuwandiisi ow’enkalakalira mu minisitule y’e by’entambula Bageya Waiswa akakasizza nga ennyonyi empya ebbiri eza Uganda Airlines CRJ900 zaakutusibwa kuno ku bbalaza ya ssabiiti ejja nga 7 omwezi guno.
Ennyonyi zino zakwasibwa gavumenti ssabiiti ewedde e Mirabel,mu Canada.
Kati singa zino zitusibwa kino kyafula omuwendo gwennyonyi nya ezakagulibwa nga ezasooka zatuuka kuno mu mwezi ogw’okuna omwaka guno.
Waiswa ategezezza nga okutuusibwa kw’ennyonyi zino kya kugaziya kungendo zennyonyi za kampuni ye ggwanga okweyongerayo mu mawanga amalala okuli iKinshasa mu DRC, Zanzibar, Asmara, Hergeisa, Lusaka, Harare, Johannesburg, Djibouti ne Addis Ababa.