Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu district ye Namayingo eriko omusajja owemyaka 55 gwegalidde ku misango gyokusobya ku mukazi owemyaka 34.
Omukwate mutuuze ku kyalo Bwania mu gombolola ye Buhemba e Namayingo.
Okusinziira ku batuuze musajja mukulu ono, omukazi yaamusanze mu nnimiro ngalima namumalirako ejakirizi.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubiakakasizza okukwatibwa kwomusajja ono.