Amawulire
Emisango 1000 egyeddembe lyobuntu gyegyafunise mu myezi 2
Bya Benjamin Jumbe
Akakiiko akalera eddembe lyobuntu aka Uganda Human rights Commission kafunye emisango egiri mu 1000, mu bbanga lya myezi ebiri.
Kino kibikuddwa ssentebbe wakakiiko kano Mariam Wangadya nga Uganda yetekateeka okwegatta kunsi yonna okukuza olunaku lweddembe lyobuntu.
Wandadya agambye nti baafunye okwemulugunya 500 mu mwezi gwa Okitobba gwokka, ate nebafuna okwemulugunya kwa mirundi 468 mu Novemba omwaka guno 2021.
Kati alaze okutya ku kweyongera kwebikolwa ebyokutyoboola eddembe lyobuntu, era ajjukizza buli akawatibwako nti lubimbi lusale lwebalina okukuuma eddembe lyobuntu.
Olunnaku olwa International Human Rights Day lukwatibwa buli nga 10 Decemba nga luvugidde ku mubala mu lunyanyimbe, Reducing inequalities, advancing human rights”