Skip to content Skip to footer

Omwana bamutasizza okusadaakibwa

Bya Gertrude Mutyaba

Abatuuze ku kyalo Ssenyange B mu gombolola ya Nyendo-Ssenyange mu Municipaali ye Masaka bataasizza omwana ow’emyaka 3 abadde alindiriddwa okusadaakibwa mu nnyumba y’omugagga ekyazimbibwa.

Kigambibwa nti omwana ono tanamanyibwa wa gyeyagiddwa wabulanga abatuuze bakoze ky’amaanyi okumutaasa oluvannyuma lw’okuwulira enduulu.

Aduumira poliisi mu district ye Masaka Henry Kintu agamba nti baayitiddwa abatuuze, poliisi era nekozesa obwangu okutuuka.

Kati abakulembeze bagamba nti baagezaako okutegeeza nannyini nju eno okweyanjula mu LC kyokka naagaana.

Leave a comment

0.0/5