Amawulire

Bannayuganda 7 bakoseddwa e Sudan

Ali Mivule

December 20th, 2013

No comments

South Sudan women

Gavumenti etandise okuddusa bannayuganda abali mu ggwanga lya South Sudan

Omwogezi wa minisistule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Fred Opolot agamba nti amawulire gebafuna galaga nti bannayuganda 7 beebakakoseddwa era nga babasindikidde enyonyi okubakomyaawo ewaka okufuna obujjanjabi

Ono agamba nti enyonyi zino era zigenda kusomba bannayuganda abalala abali mu bifu ebirimu ennyo okulwanagana

Opolt agasseeko nti ekibinja ky’abakulembeze okuva mu mukago gw’amawanga ga Africa kituuse mu Njuba okutabaganya enjuuyi ezitalima kambugu

Okulwanagana kuli wakati w’abajaasi abaali bawagira eyali amyuuka omukulembeze w’eggwanga n’ayagobwa Riek Machar n’amaggye ga gavumenti agaduumirwa Salva Kiir nga ye mukulembeze w’eggwanga lino