Amawulire

Omutanda avumiridde enguzi nalagira abakulembeze bagirwnyise

Omutanda avumiridde enguzi nalagira abakulembeze bagirwnyise

Ivan Ssenabulya

December 13th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka Ronalad Muwenda Mutebi 11, asiimye nalabikako eri Obuganda olwaleero luno era naggulawo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 29.

Ssebunya-bwa-Musota avumirirdde enguzi efumbekedde munsi yaffe, era nalaga engeri gyekosaamu emirimu.

Beene akunze abantu be, obuterabira ekirwadde kya ssiriimu newankubadde essira litereddwa ku sseniga omukambwe,

Wano era alabudde abantu ba Buganda ne Uganda awamu, bewale obulimba okuva mu bantuabakyamu abagala okubajja ku mulamwa.

Mu kusooka, Nnyinimu yalamusizzaa ku ng’oma za Mujaguzo, nalyoka yetaba mu lukiiko lwa Buganda oluguddwawo.

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga ajjukizza abantu bobwakabaka banywerere ku Buganda ne kabaka waabwe.