Bya Ruth Anderah.
Kyadaaki Kooti ekalize omusajja Eddie Ssebuufu amanyiddwa nga Eddy Mutwe ku misango gyakulya munsi lukwe , nga ono ye mukuumi w’omubaka we kyadondo East Robert Kyagulanyi.
Eddy Mutwe ono akaligiddwa mu kooti ye Gulu ne munne Musa Senyange , nga bano balabiseeko mu koti y’omulamuzi wa kooti ento Yunus Ndiwalana.
Kati bano bawezezza omuwendo gwabantu 35 abakakwatibwa olw’okukuba emotoka y’omukulembeze we gwanga nga ali mu Arua
Bino webigidde nga kooti enkulu wano mu kampala yakalagira police okuyimbula Eddy mutwe kubanga ebadde eremeddwa okumutwala mu kooti nga amateeka bwegagamba.