Bya samuel ssebuliba.
Mukaweefube w’okumalawo olukonko wakati w’abaana abasomera mu bibuga n’ebyalo, abayiiya mu uganda baliko enkola gyebaleese ey’okusomesa ku masimu nebuno obuuma bu tablet nga eno eteeka buli kitabo ekisomebwa ku mukutu guno.
Alfred Opio nga ono yakulira Kaino Africa abakola Kaino tablets, agamba nti obutabo bwonna obusomesebwa mu by’enjigiriza bya uganda butekeddwa ku buuma buno, songa omwana oba omusomesa akakozesa ayinza n’okwetegekera ebibuuzo nabiddamu nga ayita ku kuuma kano.
Kati ono agamba nti omulamwa gabwe gwakulaba nga batuusa obuuma buno mu masomero ga East Africa gonna,