
Eyaliko meeya wa Kampala Alhajji Nasser Ntege Ssebaggala avuddeyo n’awakanya ebigambibwa nti kati ate ayagala pulezidenti Museveni alekulire.
Amawulire gafulumye olwaleero nga galaga nti Ssebaggala yabadde kati awagira ekya pulezidenti okuvaako kubanga afuze emyaka mingi nga n’eby’akoze nabyo bingi.
Sebaggala agamba nti kituufu Museveni ajja kuwummula kyokka nga kati y’akira abesimbyeewo bonna.