
Abavubuka bekozeemu omulimu nga bakutambuza enjiri y’emirembe.
Abavubuka bano bagaala kukubiriza banaabwe kwetaba mu kalulu kyokka nga tebakoze mivuyo gyonna.
Akulembeddemu abavubuka bano Martin Muganzi agamba nti kino bakikoze okutumbula akalulu akalimu emirembe.
Yye omusumba eyawummula Zac Niringiye agamba nti emirembe giyinza kuva mu kuteesa kwokka
Bishop Zac agamba nti ensonga nyingi eziyinza okuvaako obutabanguko era nga zirina okukolebwaako.
Kuno kwekuli obutenkanya, amaggye okuyingizibwa mu buli kimu n’ekiboola mu mawanga