
Omukozi w’emyaka 22 eyemoolera ku mwana wa mukama we omulenzi ow’emyaka 5 n’amukozesa ebya bakulu addiziddwaayo e Luzira mu kkomera.
Christine Nakato emisango gye egy’okukabasanya akalenzi gyakuwulirwa mu lutuula lwa kkooti enkulu oluliddako
Nakato omutuuze we Walufumbe e Kyanja yeeyali alabirira omwana ono ng’omukozi w’awaka kyokka nga buli mukama we lw’avaawo ng’adda ku mwana
Ono nno yatuusa n’okutiisa omwana ono okumukuba ssinga ayogera kyokka ng’omwana ono yabbirako mwanyina omuto eyategeeza nyina
Omulamuzi Moses Nabende ategeezezza nti omusango agusindise mu kkooti enkulu