Amawulire
Abantu 58 baafiridde mu bubenje ku ssekukulu ne poliisi eweze Fire-Wax
Bya Juliet Nalwooga
Poliisi etegezezza ngabantu abagoba mu 60 bwebafiridde mu bubenje obwenjawulo, mu nnaku enkulu, wakati wanga 23 ne 26 Decemba.
Omwogezi wa poliisi yebidduka Faridah Nampiima abadde ku kitebbe kya poliisi e Naguru, naanyonyola bannamauwlire ebibalo bino.
Agambye nti awamu obubenje 195 bwebwaguddeeo, ngamakumi 50 bwabadde ddekabusa, obubenje 90 bwabadde bukambwe nnyo atenga 51 bwabadde butonotono.
Ku bantu 3000 abakwatiddwa olwokumenya amateeka gokunguudo, 640 babadde bavugisa kimama.
Wabula Nampima agambye nti tewali kabenje konna, kaagudde mu kifo ekyabulijjo webutera okubeera.
Mungeri yeemu, poliisi eweze ebyokukuba ebiriroliro, mu kwaniriza omwaka.
Kino kirangiriddwa omwogezi w poliisi mu gwanga Fred Enanga ngagambye nti kigendereddwamu, obutakungaanya bantu mu bifo ekyandivaako okusasaana kwa ssenyiga omukambwe.