Bya samuel ssebuliba.
Ssabawaabi wa government avudeyo nasambajja ebigambibwa nti yaavunayizibwa kukutwalibwa kw’abantu mu kooti nga bajjudde ebiwundu.
Ono okuvaayo kidiridde abalwanirizi b’edembe ly’obuntu okumwambalira nadala oluvanyuma lw’okutwala Robert Kyagulanyi mu kooti nga ali mu bulumi obutagambika olw’ebiwundu ebyamutuusibwako nga akwatibwa.
Twogedeko ne DPP Mike Chibita, nagamba nti bbo abavunaanwa abaabalako omulundi ogusuuka nga bazze mu kooti, kale byonna ebyaliwo nga tebanajja mu kooti tebabimanyaako.
Wabula ono agambye nti olw’ategedde bino nalagira police okutandika okunonyereza ku nsonga eno.
Sound: DPP on police——lug