Ben Jumbe.
Amyuka sipiikawa Parliament Jacob Oulanya akyalireko ababaka ba parliament abaggalirwa mu komera elya Gulu central prison.
Kinajukirwa nti bano bebaakwatibwa mu kavuyo akaakulembera okulonda kwe Arua Municipality, nga kuno kwawangulwa Casiano Eziat Wadri , kyoka nga naye kakano musibe.
Abagalirwa kuliko Paul Mwiru, Gerald Karuhanga, kassiano Wadri Robert Kyagulanyi , kko neyali omubaa we Makindye East Mike Mabikke
Ono okugendayo abadde ayagala kumanya mbera yaabano gyebalimu, naddala ku nsonga z’okubatulugunya.
Ono bwavudeyo ategeezeza banamawulire nti bano abamu tebali bubi, wabula nga ye Paul Mwiru alina obuvune mu kibegabega