Bya ben Jumbe.
Olunaku olwaleero ekiziimbe ky’e kanisa ya Uganda ekya Church house kitongozeddwa, nga kino kituumiddwa ST Janani Luwum Church house.
Ssabaminister we gwanga Dr Ruhakana Rugunda, nga yabadewo okukiikirira omukulembeze we gwanga yeebaziza e kanisa ya Uganda olw’okulwana okulaba nga ekizimbe kino kiggwa.
At ye ssabalabirizi we kanisa ya Uganda kitafe mu katonda Stanley Ntagali, yebaziizza kanisa n’abakulistayo bonna okuwaayo buli kyebasobola okulaba nga ekizimbe kin kiggwa.
Kino ekizimbe kiwemense obuwumbi makumi ataano.