Skip to content Skip to footer

Bomu ebasattizza

bomb

Poliisi ekkakanyizza emitima gy’abantu egibadde gyewanise oluvanyuma lw’okugwa ku kintu kyebatebereza okuba bbomu e Lugogo.

Abantu abali okumpi ne supamaketi ya Shoprite e Lugogo bakedde mu kasattiro oluvanyuma lw’okulaba ekyuuma kyebatategeera

Bano bayise poliisi mu bwangu era nayo n’esitukiramu

Omwogezi wa poliisi Polly Namaye, agamba nti ekyuuma kino bakijjeewo awatali buzibu bwonna

Agamba nti ebyakava mu kunonyereza biraga nti ekyuuma ekyogerwaako kibadde kya motoka kyokka nga bakunonyereza okuzuula ani yakisuddewo n’ekigendererwa kye

Leave a comment

0.0/5