Amawulire
Omuliro gusanyizaawo bya bukadde e Luweero
Bya Juliet Nalwooga
Ebintu ebibalirwamu obukadde nobukadde bwensimbi bitokomokedde mu muliro nabbambula, ogukutte ekizimbe mu tawuni kanso ye Wobulenzi mu disitulikiti ye Luweero.
Abakoseddwa kuliko amadduuka aba mobile money nabalala, nga byebibadde bikolerwa ku kizimbe kino.
Isah Ssemwogerere, omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Savannah akakasizza enjega eno, ngagambye nti basobodde okugezaako okuguzikiriza obutalanda okugenda mu basubuzi abalala.
Agambye nti tewali muntu yenna afiridde mu muliro guno.