Bya Abubaker Kirunda
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Musongola mu munisipaali ye Bugiri, omusajja bwasanze omulambo mu kinabiro kye, ngagenze okunaaba.
Bino bibadde mu maka a Subuha Walujo nga mukyala we amutwaliddeyo amazzi okunaaba ekizeeko nduulu zezigoberedde.
Ssentebbe wekyalo kino Peter Muyobo agambye nti omugenzi babadde tebamumanyi mu kitundu kino.
Poliisi eyitiddwa nejjawo omulambo okutandika okunonyereza.