Amawulire

Ebibuga ebyasibwa byakulindako

Ebibuga ebyasibwa byakulindako

Ivan Ssenabulya

January 24th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ebibuga ebyatongozebwa gavumenti, nga byalina okutandika okukola mu myaka gyebyensimbi 2 ejijja, bigenda kujira nga birindako.

Palamenti mu April womwaka gwa 2020 yayisa ebibuga 15 ebippya okwetoloola Uganda, ngebimu byatandika okukola nga 1 July mu 2020, ebirala mu July wa 2023.

Ebibuga okuli Jinja, Mbarara, Gulu, Mbale, Arua, Fort Portal ne Masaka byatandika mu July mu mwaka gwebyensimbi 2020/21 ate Hoima, Lira ne Soroti babyongerayo mu 2025/26.

Ebiralala kuliko Wakiso, Entebbe, Moroto, Nakasongola ne Kabale, wabula minisita wa gavumenti ez’ebitundu Raphael Magyezi asabye abamu balindeko.

Agambye nti bagenda kusooka kutema mpenda nokutekawo empagi oba emirandira eginawanirira ebibuga bino.