Amawulire
Omulambo gw’omugenzi Mutebile gusubirwa okutuuka olwaleero
Bya Ritah Kemigisa
Omubiri gwomugenzi, Prof Emmanuel Tumusiime Mutebile, abadde gavana wa Banka yegwana enkulu gusubirwa okukomezebwawo mu gwanga olwaleero.
Prof Mutebile yafudde ku Sunday mu gandaalo erya Sabiiti, mu ddwaliro lya Nairobi Hospital gyabadde ajanjabirwa.
Oksinziira ku ntekateeka yokuziika eyafulumiziddwa ssente wakakiiko akatekateeka okuziika, minisita wamwulire Dr Chris Baryomunsi, omugenzi Mutebile waakuzikibwa ku Bbalaza wiiki ejja ku butaka mu disitulikiti ye Kabale.
Olumbe lugenda kukumibwa mu maka g’eKololo olunnaku lwenkya, atenga ku Lwokuna palamenti ejja kutuula okumusiima nokujjukira emirimu gyakoledde egwanga.
Okusabira omwoyo gwomugenzi gujja kubera Kololo ku lunnaku Lwokutaano, oluvanyuma omulambo gutwalibwe okwabwe e Kigezi.
Mungeri yeemu, omulamuzi wa kooti ensukulumu eyawummula George W. Kanyeihamba akungubagidde Prof Emmanuel Mutebile, ngamwogeddeko omuntu omugundiivu atajja kuzikawo.
Mu bubaka bwe obwokukungubaga, Kanyeihamba agambye nti okufa kwe kwabakubye enkyukwe nga Banyakigezi waddenga babadde bakimanyi nti mukosefu.
Agambye nti enkola ye eyemirimu eraga nti omukulembeze wegwanga abadde amaukirizaamu, newankubadde bibadde bingi ebyogerwa nokumunenya nti awummule.