Amawulire
Museveni aguddewo boda boda
Omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni ataguludde entambula ya boda boda, okukola kyere awatali kkomo ku budde.
Museveni asinzidde ku mikolo gy’olunnaku lwa Tareh-Sita, olw’omulundi ogwa 41 e Mbale, nagamba nti kino kigenda kutandika okukola olunnaku lwenkya nga 7 February 2022 ku ssaawa 12 ezakawungeezi.
Agambye nti wakati mu kusomozebwa kwobumenyi bwamateeka obuli mu mulimu gwa boda boda abalese bakole, ebisigadde bajja kubigonjoola mpola mpola.
Ategezeza nga bwebagenda okuyita mu buuma obuketta nokulondoola ebidduka, okumalawo obutemu obukolerwa ku mmotoka.
Obuuma buno asubizza nti bugenda kuletebw mu myezi 6 nga bannyini bidduka beajja okubweteramu.
Boda boda zibadde ku muggalo nga bakugirwa mu budde bwebakola, okuviira ddala mu March wa 2020.
Mungeri yeemu, omukulembeze wegwanga asabye abantu mu Buvanjuba bwegwanga okuva ku kulima omuceere mu ntobazi bettanire nnyo okulunda ebyenyanja.
Okulimira mu ntobazi agambye nti kyabulabe nnyo eri obutonde bwensi, songa ebyenyanja bisobola okulundibwa nga nentobazi zisigaddewo ate nebafunamu okusukka neku kyebabadde bafuna.