Skip to content Skip to footer

Emorimori wakuweebwa okuziika okutongole

Bya Damalie Mukhaye

Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni awadde, omukulembeze wenono owaba-Teeso Emorimor Augustine Osuban Lemukol okuziika okutongole, okwa gavumenti.

Mu bubaka bwe obwokukungubaga, Museveni agambye nti omugenzi abadde atakabanira emirembe nobumu saako enono nobuwangwa bwabwe.

Emorimor yafiridde mu ddwaliro ekkulu e Mulago olunnaku lweggulo, gyabadde yaweebwa ekitanda wiiki 2 emabega ngalwanagana nekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Ono yaafiridde ku myaka 88 nga baali bazooka kumujanjabira mu ddwaliro ekkulu e Soroti ku ntandikwa ya January, wabula embeera ye bweyayongera okutabanguka nebamwongerayo e Mulago.

Leave a comment

0.0/5