Amawulire
Bukomansimbi: Abatuuze bazudde omulambo
Bya Gertrude Mutyaba
Abatuuze ku kyalo Misanvu mu gombolola ya Kibinge mu disitulikiti ye Bukomansimbi, bagudde ku mulambo gw’omusajja gwebatamanyi bimukwatako.
Omulambo guno gubadde gwaazingiddwa mu kiveera nga gwasuliiddwa mu kibira kya kalitunsi okumpi n’oluguudo.
Kigambibwa nti waliwo emmotoka eyavuze omulambo ogwo, nebagusulawo nga wasangiddwawo emipiira gyemmotoka.
Abatuuze batubuulidde nti balina okutya olw’emirambo egisusse okusulibwanga mu kitundu kyabwe emisana ttuku.
Ssentebe w’ekyalo Misanvu Twaha Lusiba agambye nti bazzenga basab nti babaterewo poliisi mu kitundu kino, wabula okuwanjaga kwabwe tekunavaamu bibala.
Aduumira poliisi e Bukomansimbi Christine Namawuba akunze abatuuze okube, byebatamanyi.