Amawulire
Kony bamutaddeko obukadde $ 5
Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole kyegwanga lya America, ekikola ku kasiimo nebirabo ku bantu abayigibwa, War Crime Rewards Program wansi wa US State Department battukizza omuyiggo ku Ssabayekera wa Lord’s Resistance Army Joseph Kony.
Kony yetagibwa kooti yensi yonna the International Criminal Court, etuula mu kibuga Hague mu Nethrelands ku misango gya kalintalo, okuli okutta abantu kirindi, okutulugunya abantu, okuyingiza abaana mu buyekera, nebralala njolo byeyakolera mu mambuka ga Uganda.
Aba War Crime Rewards Program balangiridde ekirabo kya bukadde bwa $ 5 bwebuwambi bwa silingi nga 17, eri abanayambako okubawa amawulire ku mayitire ga Kony, era basubizza okuzibira ebimukwatako 100%.
Bagamba nti yetagibwa asobole okuvunanibwa, waberewo nobwenkanya eri abantu beyakosa.
Kony yadduka Uganda nayingira Democratic Republic ya Congo oluvanyuma yasemba okuwulirwa nti ali mu masekati gegwanga lya Central African Republic.
Kino kyadirirra obulumbaganyi obwomudiringanwa obwabakolebwako amagye gegwanga aga UPDF, nekikomya olutalo olwakulungula emyaka 20 mu mambuka ga Uganda.
Ono abadde yetagibwa kati okumala emyaka 15 nayenga talabikako.
Mungeri yeemu, kooti ya ICC wiiki eno essubirwa okutuula okuwulira okujulira kwa Dominic Ongwen, eyali omudumizi waba LRA ngawakanya ekyokumusingisa emisango nekibonerezo ekyamuweebwa ku misango gya kalintalo.