Bya Benjamin Jumbe
Bannauganda bakubiriziddwa okutemya ku bobuyinza singa balaba omuntu alina obubonero obulaga ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Omulanga guno gukubiddwa sentebe wekibiina omwegatira abasawo nábakuzi bamannyo ki Uganda Medical and Dental Practitioners Council Prof Joel Okullo Odom.
Kino kidiridde omuwendo gwa bantu abakwatibwa ekirwadde kya covid-19 okweyongera mu ggwanga nga wetutukidde olwa leero bannauganda abasoba mu mitwalo 7 bafuna ekirwadde.
Prof Okullo agamba nti okuzuula abalwadde ba covid-19 mu bwangu kiyamba mu kulungamizibwa okufuna obujanjabi obutuufu.
Era asabye abantu abatulugunyizibwa abasawo babaloope basobole okukangavulwa.