Amawulire

Uganda esomose omuyaga ogw’okusattu ogwa COVID-19

Uganda esomose omuyaga ogw’okusattu ogwa COVID-19

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2022

No comments

Bya Ndhaye Moses

Minisitule yebyobulamu erangiridde nti Uganda esomose omuyaga gwa ssenyiga omukambwe ogwokusatu, oluvanyuma lwemiwendo gyabalwadde abapya okukira ddala.

Kino kirangiriddwa minisita webyobulamu Dr Ruth Jane Aceng ngagambye nti basigazza disitulikiti 4 zokka, wakyafunika abalwadde okuli Kampala, Kabalore, Mpingi ne Wakiso.

Abalwala bali ku 1% ngabantu 10 ku 20 bebafunika nga balwadde mu buli kukebera kwebakola okwa buli lunnaku.

Dr Aceng made ayogedde bino bwabadde akwasibwa cylinder zomukka gwa oxygyen 1000, enkata ebakubiddwako egwanga lya Denmark okuyita mu kitongole kya World Health Organization, ngebalirirwamu emitwalo gya $ 23.

Wabula minisita asabye abantu okusigala nga bekuuma nokwewala obulwadde, nga bagoberera amateeka gebebyobulamu.