Amawulire
Bannadiini banenyezebwa nti tebakoze kimala
Bya Ivan Ssenabulya
Munnamateeka awoza emisango gy’eddembe ly’obuntu Benjamin Katana asomozza ekkanisa ne bannadiini awamu, nti tebakoze kimala okulwanyisa obutali bwenkanya mu gwanga.
Katana agambye nti enfunda eziwera banadiini betabye nemu kulya ebijjulo ne gavumenti nebabasirisa, nebatasobola okwogera ku bikolwa ebikyamu.
Ono abadde ayogera ku mugenzi Janani Luwum eyali Ssabalabirizi wekkanisa ya Anglican, ngamujaguzza namutendereza olw’obuvumu bweyayolesa okuwakanya ebikyamu mu gavumenti yomugenzi Idi Amin.
Munegri yeemu ono agambye nti ekizibu kyebitongole ebukuuma ddembe ssi kutendekebwa kwakibogwe, naye babulamu okulungamizibwa kubanga byebakola babeera babimanyi.
Ugandans olwaleero ejaguza emikolo egyolunnaku lwa Janani Luwum day, egyomulundi ogwomusanvu.
Yali mulabirizi wettundutunsu omwali Uganda, Rwanda, Burundi ne Boga-Zaire, yattibwa nga 16 February mu 1977.