Amawulire
Poliisi ekutte maama nabatabani olw’okutta bbaawe
Bya Musasi Waffe
Poliisi mu disitulikiti ye Ibanda eriko omukazi nakampaate gwegalidde nabaana be 2, ku bigambibwa nti bakidde nnyinimu nebamutta.
Omuddumizi wa poliisi e Ibanda Philbert Waibi agambye nti omugenzi ye Peter Mwebaze, abadde aweza emyaka 59 ngabadde mutuuze ku kyalo Kayenje mu Bufunda ward.
Kigambibwa nti omukazi Busingye Fledian yamukubye ekiti ku ssekalaotera, oluvanyuma lwokufuna obutakanya.
Wabula abamu bagamba nti omukazi yabadde yetaada, oluvanyuma lwomusajja okumulumna ne jambiya.
Bino byatandise omusajja bweyayingidde mu nyumba ngabuuza essimu ye okwabadde Mobile Money, nga tebamuwuuna.
Waibi akakasizza okukwatibwa kw’omukyala ne batabani be, nga balabika bekobaanye mu butemu buno.
Okunonyereza okuzuula ebisingawo kugenda mu maaso.