Amawulire

Katikkiro atongoza abakulembeze ba Nkobazambogo mu Masomero

Katikkiro atongoza abakulembeze ba Nkobazambogo mu Masomero

Ivan Ssenabulya

April 1st, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Kattikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akalaatidde abazadde okutwala omutawana okumayisa abaana baabwe nga bakyali bato nti mulimu gwabwe okukuuma n’okutaasa Namulundo ate nókubakulizamu omutima gwa Buganda ogutafa.

Katikkiro bino abyogeredde wano Bulange e Mengo ku mukolo gwókutongoza abakulembeze abagya abékibiina kya Baganda Nkobazambgo ku mutendera gwa masomero ga senior námatendekero agawaggulu.

Katikkiro akinoganyiza nti abazadde batekeddwa okukuza abaana baabwe nga bakimanyi bulungi nti mwe mugenda okuva abatuuze abanagasa Buganda ne Uganda mu biseera ebyómumaaso.

Katikkiro era asinzedde wano nasaba abakulira amasomero nabasomesa basobozese abayizi okutandikawo ebibiina bya Nkobazambogo mu masomero ate nókubawa obuwagizi, nasaba abakulembeze abagya abalondedwa bebeere besigwa baleme kuswaza Kabaka wabwe.

Ku mutendera gwóbukulembeze bwa Nkobazambogo Akalibakendo obwa masomero ga senior, Nakalo Brivado Martha owa Lubiri SS yalondedwa nga ssentebe omugya okudda mu bigere bya Adrien Lubyayi Abraham era owa Lubiri SS.

Ku mutendera gwa matendekero agawaggulu, Mutebi Benon owa Kampala International University ye ssentebe omugya, era azze mu bigere bya Raziya Nantamu ku kisanja ekyémyaka 2, era bonna abalondedwa baweze okuwereza Kabaka wabwe awatali kumutiririra.