
Waliwo eyali omusirikale wa poliisi asangiddwa nga afiiridde mu nyumba oluvanyuma lw’okunywa omwenge.
Omuduumizi wa poliisi e Mbale Peter Mugabi akakasizza okufa kwa Copolo Mathew Matasi abadde omutuuze we Koyi muuluka gwe Bubesa mu gombolola ye ye Nyondo.
Ono asangiddwa nga yafiira mu nyumba ye ngomulambo gwe gubadde gutandise okuvunda.
Ebivudde mu basawo biraze ngono bweyanywedde omwenge omunji ekyamuvirako okufa.
Kitegezeddwa nti yawummula okuva mu police mu mwaka gwa 2003 ku mulembe gwa Gen. Katumba Wamala.