
Omukulembeze we gwanga lya America aboggokedde egwanga lya South Africa ku nnati zebassa ku nkoko zaabwe
Kati South Africa erina ennaku 60 okukyusa mu byebasalawo oba ssi kkyo ebyaabwe ssi byakutuuka mu America.
Ekkoligo lino aba South Africa balirangirira ku nkomerero y’omwaka oguwedde oluvanyuma lwa ssenyiga w’ebinyonyi eyali abaluseewo.
Obama aliko ebbaluwa gy’awandikidde gavumenti ya South Africa ng’ayagala ekkoligo liveewo.