Amawulire

Omusomesa bamulumirizza okuyambako omuyizi okujjamu olubuto

Omusomesa bamulumirizza okuyambako omuyizi okujjamu olubuto

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2022

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Abakulembeze b’eggombolora y’e Kiyuni mu district y’e Mubende baddukidde eri omubaka waabwe omukyala, Hope Grania Nakazibwe, abayambe ku kizibu ky’abasomesa abatandise omuze gwokuyambako abaana b’amasomero okujjamu embuto.

Ssentebe w’eggombolora Aloysius Byamunugo ategeezezza ngabasomesa bwebatandise ebutereevu okwetaba mu bikolwa bino.

Ayogedde ku mwana ku ssomero lya Kigamba Primary School, Omumyuka w’omukulu w’essomero eryo Nayiga Justine gyagambibwa okumuyambako okuwakankulamu olubuto.

Ssentebe Byamunugo agambye embeera eno ssinga teyanguyirwa abaana abawala bandimaliriza nga bafudde, era kigenda kukosa ebiseera byegwanga ebyomu maasp.

Omumyuka w’omukulu w’essomero lya Kigamba Nayiga Justine ategeezezza ng’ensonga z’omwana ono bwazimanyi obulungi, naye agamba nti yawabula abazadde obutajjaamu lubuto nebagaana okumuwuliriza, era agambye nti teyabiriimu.

Omubaka omukyala owa district y’e Mubende Hope Grania Nakazibwe asabye poliisi e Mubende ne Mityana okukakasa nti bakwata omusomesa ono n’abazadde abeenyigira mu kikolwa kino, kubanga okujjamu olubuto kimenya amateeka ga Uganda.