Amawulire
UPC esabye Gavt ku butabanguko obuli e Karamoja
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kya Uganda People’s Congress (UPC) kisabye gavumenti okukola okunonyereza bakyuse ekitundu kye Karamoja obutatambulira ku bulunzi byokka ngekyetunzi.
Kino kigidde mu kaseera nga embeera eyobunkenke yeyongedde mu bitundu bye Karamoja nga abaayo balumiriza nti abakaramoja abalwanyi babalumba ne babakolako efujjo omuli nokubabbako ente zabwe.
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, omwogezi wa UPC, Sharon Arach Oyat agambye nti okukyusa emirimu egivaamu ensimbi e Karamoja kyakukendeeza ku batuuze okutunulira obulunzi ngomulimu gwokka gwebasobola okukola wabula babeere nga mu Ankole bano ku bulunzi bagattako okulima emmere ne byentunzi ebirala
Mungeri yemu UPC esabye gavt okukwatagana ne balirwana baayo okuteekawo eggye eryawamu erinalawuna okuyimiriza ababbi be nte.