Bya Sam Ssebuliba
Gavumenti yakuno yakutuuka ku nzikiriziganya neya Qatar ku bannayuganda abakolerayo nga era emikono gyakuteekebwa ku ndagaano nga 23 June 2017.
Uganda yakwatagana dda ne gavumenti ya Saudi Arabia ne Jordan nga era balina n’enteekateeka okukwatagana neya
United Arab Emirates bangi gyebamanyi nga Dubai , Bahrain, Iraq ,Kuwait n’amawanga g’abawarabu amalala.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olwaleero, omuwandiisi wenkalakalira mu minsisitule y’ekikula ky’abantu Pius Bigirimana ategezezza nga bwebataddewo ne ofiisi mu ggwanga lya Saudi Arabia okulondoola bannayuganda abakolera mu kyondo kyabuwarabu.
Era gavumenti yakuteekesa kampuni ezitwala bannayuganda okukolera mu mawanga ago emikono ku ndagaano okulaba nga abava kuno tebayisibwa bubi ku mirimu.
Bannayuganda abali eyo mu 5 bebagenda okukuba ekyeyo mu mawanga g’abawarabu.