Skip to content Skip to footer

kkooti eganye okuyimiriza eby’okugyako amassimu

Bya Ruth Anderah

Kkooti enkulu wano mu kampala egobye eky’okukoma ku kakiiko k’enyempuliziganya aka Uganda Communications’ Communication obutajjako ssimu z’abo bonna abanaaba tebawandiiszzza kaadi zaabwe olunaku lw’enkya olwa nga 19th/May 2017.

Omulamuzi Steven Musota agobye omusango ogwali guwaabiddwa Norman Tumumbise n’ebekibiina ekirwanirizi ky’edembe ly’obuntu ekya Trumpet Ug Ltd. Nga baagala okugyako amasimu kugira kuyimirira okutuusa nga omusango omukulu oguwakanya eky’okuwandiisa amassimu n’endaga Muntu zokka guwedde okuwulirwa.

Abaawaaba baali bemulugunya nti bannayuganda balina paasipoota ekimu ku kiwandiiko ekitongole mu ggwanga kale nga kikyamu okukaka bannayuganda okwewandiisa n’endaga Muntu zokka.

Omulamuzi  Musota ateegzezza nti okusaba kuno kwalwawo kubanga gavumenti yayongezaayo okwewandiisa kuno kale abaawaaba balinde omusango gwabwe gwebawaaba guwulirwe naye teri kuyimiriza byakugyako massimu gaabo abaganye okwewandiisa.

Ku musango gw’okukozesa endaga Muntu zokka okwewandiisa, Musota ategezezza nti wakusalawo nga 8th/June 2017.

   

 

 

Leave a comment

0.0/5