
Omubaka omukyala ow’e Iganga Olivia Kwagala aneneyezza abasajja obutamugambako n’atuusa n’olunaku olwaleero nga talina abikka.
Kwagala nga ali mu kunoonya kalulu kamuzza mu ntebe agamba abasajja bekwata omusobooza tebamusiiyako sso nga ye talina agamba.
Agamba nga omukulembeze agezezaako okusikiriza abasajja bamusuuleyo akagambo afune daali anamukuba ekidaala wabula bonna bwekwata.
Bino abadde ayanukula abamukolokoto okuba nga ku myaka egyo ssimufumbo wabula n’ategeeza nti abaweerezza bulungi yadde nga ssimufumbo.