
Akutte bendera ya FDC ku bukulembeze bw’eggwanga Dr Kiiza Besigye akakasizza abalonzi mu disitulikiti ye Oyam nti abavuganya betegese okuwangula gavumenti eri mu ntebe era ng’akakiiko akalondesa tekajja kulangirira mulala.
Ng’ayigga akalulu mu bitundu bye Oyam, Dr Besigye agambye nti akalulu tekasobola kubbibwa ssinga buli Muntu akola ogugwe
Ono abadde ayanukula abalonzi abalaze okutya nti nebwebalonda, obuwanguzi bwaabwe bwandibbibwa.
Besigye agambye nti tebasobola kumegga mulabe ate difiiri n’alangirira omulala ng’awangudde
Asabye abalonzi okubeera abanyweevu era balwanyise okutiisibwatiisibwa
Besigye akyaliddeko n’ab’enyumba y’omugenzi Simple Odoki ng’ono yali yesimyeewo ku bwa kansala kyokka n’afiira mu kabenje ng’ayigga akalulu.