Abakulu mu kitongole ekivunanyizibwa ku by’omutindo wano mu ggwanga nabo batuuseko ku kizimbe kya Kyaseka Towers ekyayiseemu ku lw’okusooka lwa wiiki eno.
Bano nga bakulembeddwamu ava mu kitongole ky’a bakebera omutindo gw’ebizimbisibwa John Sanyu , bakizudde nti nanyini kizimbe yakozesa emitayimbwa egyawerebwa ekitongole kino sso nga nga n’omusenyu gwayitirira nyo okusinga ku seminti.
Kati abakugu bano era bakunganzyizza egimu ku mitayimbwa, amayinja wamu n’enkokoto eyakozesebwa ,kibayambe okwongera okubyekebejja okumanya obuwangaazi bwabyo.
N’okutuusa kati abaddukiriza bakyayiikula ebifunfugu okulaba nga bataasa abayinza okuba nga bakyabikiddwa wansi.
N’okutuusa kati abantu 4 bebakafa sso nga 9 bali mu ddwaliro ekkulu e Mulago banyiga biwundu.