Bya Kyeyune Moses.
Nate police ezeemu okwogerwako nga ekyasinze okutulugunya abantu mu gwanga.
Bino birabikidde mu alipoota ey’amakumi abiri ekwata ku dembe ly’obuntu ekoleddwa akakiiko akakola ku dembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission.
Alipoota eno eraze nga abantu bwebaliisibwa akakanja mu polisi nadala nga bakyali ku mutendera ogw’okunonyerezebwako.
Ssentebe w’akakiiko kano Meddy Kaggwa agambye nti abamu kubaasinga okuliisibwa akakanja beebo abateberezebwa okutta omugenzi Andrew Felix kaweesi,kko n’abalala abavunanibwa emisango eggy’ekuusa kubutemu.
Kaggwa mungeri yeemu akukulumidde palamenti nga agamba nti eno olugikwasa alipoota zino nga ezitereka mpaawo ky’eteeka munkola, kyagamba nti sikyabuntu.