Bya Ruth Anderah.
Omusajja agambibwa okusobya kumwana omujja na nyina ow’emyaka essatu gyoka n’amusiiga mukenenya avunaniddwa era nadizibwayo ku meera e Luzira.
Katende Asuman asimbiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Jane Francis Abodo, wabula omusango gw’okusobya ku bujje nagwegaana.
Kkooti ekitegedeko nti omwana ono yajja n’enyina era nga Katende weyamusobezako yeyali nga kitaawe.
Ono omusango yaguza mu February wa 2015 e Nateete mu Kajubi zone, era nga ebanga lino lyona abadde akumibwa mu komera e Luzira okutuusa lwagiddwayo atandike okuwerenemba n’omusango.
Kati wakudizibwa mu kkooti nga June 12th omusango gutandike okuwulirwa.