Bya Abubaker Kirunda
Mu district ye Jinja agavaayo galaga nga abaana 30 bwebakwatidwa okuva mu gombolola ye Buyengo, nga bano ogubavunanibwa gwakugenda mumasamba gabikajjo okukola kyoka nga kadde kakusoma.
Bano abaana bakwatidwa nga bakedde kugenda kutema bikajjo, era nga kino ekikwekweto kikulembedwamu akulira police yeeno Hoseph Ojuka.
Yye omwami w’egombolola eno Josephine Balinaine agambye nti okuzukuka bamaze kukizuula nga abaana abasoma bakendedde.