
Omuyizi wa siniya ey’okuna ayolekedde okusubwa ebibuuzo bye oluvanyuma lw’okufumitibwa makansi ku mutwe abagaalana ababadde balwana.
Sowedi Waiswa omuyizi mu Iganga Parents nga aweza egyobukulu 18 mutuuze we Iganga ku kyaalo Nakavule y’alumiziddwa mu kulwanagana kwa balirwana omwami ategerekeseeko erya Isa bwakanyuze Makansi okukuba mukyala we wabula n’ekwatamu Waiswa abadde ku lubalaza nga asoma ebitabo.
Mu kanyolagaano kano, omusajja adduse wabula poliisi n’ekwata omukyala abitebye.
Twogeddeko ne maama wa Waiswa Faith Kalube ategezezza nga sitani bwalina ettima okulaba nga omwana we gwebamaliddeko ensimbi alabise nga siwakukola bibuuzo bye ebisembyeyo