Bya Damalie Mukhaye.
Ekitongole ekikola ku by’ebibuuzo mu gwanga ekya UNEB nga kikwataganye ne police batandise okunonyereza kubigambibwa nti waliwo abaana abaasomodde ebibuuzo ebikolebwa ku mutendere ogwa S.4.
Kinajukirwa nti amakya ga leero olupapula lwa Daily Monitor lukitegedeko nti waliwo empapula 2 okuli olwa chemistry paper 2 ne CRE ezigambibwa okuba nti zalabidwako abayizi nga tezinakolebwa olunaku lwe ggulo.
Ekiwandiiko ekituwerezedwa omwogezi w’ekitongole kino Hamis Kaheru, UNEB ekitegedeko nti waliwo abaasomodde ebibuuzo bino, wabula nga tebanakwatibwa.