Bya Sam Ssebuliba

Omubaka wa Bugangaize East mu palamenti Onesmus Twinamasiko, yetondedde palamenti, abakyala ne gwanga awamu olwebigambo bye, ebyamuzalidde ebikaawa bweyawagira okukubamu ku bakyala mu maka.
Ono bangi babadde bamunenya nokumuteeka ku nninga byeyayogera abimenyewo, ngabalwanirizi be ddembe lyabakyala bagamba ebigambo bye byabade bikyamu tebyasubiddwa kuva mu mukulembeze.
Omubaka Onesmus yetondedde palamenti nategeeza nti, ebigambio bye byabadde bya bulagajjavu nabimenyawo wabula nasaba asonyiyibwe.
Ono alina wogeredde nti yali tategeeza okukuba abakyala okwa bulijjo, wabula kugun okulala.